Okutonderawo abakyala emirimu, abasoba mu 144 babanguddwa mu by’emikono
Ekibinja ky’abakyala 144 abasoose okuganyurwa mu nteekateka y’okubangula abakyala abakola obulimu obutonotono kifulumiziddwa leero wansi we nkola emanyiddwa nga Grow Project. Abakyala bano bakuguse mu mirimu nga okukola keeki, okusiba enviiri , eby’okwewunda kko n’ebirara. Abakulira entekateeka eno basabye abasajja okukkiriza bakyala baabwe okujjumbira okufuna obukugu.