Olunaku lw’abannamawulire, emikutu mingi tegyisasula bakozi
Nga Uganda yegatta ku Mawanga amalala mukwefumintirizza ku ddembe ly’abamawulire, bannamawulire bakubiriziddwa obutetiirira ku bintu ebibanyigirizza mukutukirizza emirimu gyabwe wabula basitule edoboozi okubisalira amagezi. Kino kidiridde okukaaba n’okwemulugunya okuva mu bannamawulire abawerako naddala bwekituuka ku ky’okusasulwa omusaala.