Omulabirizi w’e Mukono akukkulumidde gav't lwa butafaayo nga ettaka ly'ekanisa litwalibwa
Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo akukkulumidde gavumenti gy'agamba nti yesuuliddeyo gwannaggamba nga ettaka ly'ekanisa litwalibwa bannakigwanyizi. Ono agamba abakulembeze b’ekanisa wadde bagezaako okwekubira enduulu tebayambiddwa. Era ono ayogedde nekukaseera k’okulonda akasembede n’alabula bannabyabufuzi okwewala okukozesa ekanisa okuwenjezaamu obuwagizi - okwogera bino abadde awa bubaka bwe obwa ssekukkulu.