Omulabirizzi w’e Mityana avumiridde abavubuka abegumbulidde okukozesa obubi omutimbagano
Omulabirizzi w’e Mityana James Bukomeko avumiridde abantu naddala abavubuka abegumbulidde okukozesa obubi omutimbagano nga batambulizaako obukyayi. Era asabye abantu obutasiga bukyayi akageri eby’okulonda bwebisembedde. Okwogera bino yabadde ku mukolo Minisita Nankabirwa kweyeebalizza Katonda okuweebwa ekitiibwa kya Canon.