Poliisi egamba eby'okwerinda bya Kyagulanyi bibaddeko akabuuza
Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira ekibiina ki NUP asiibuddwa mu ddwaliro e Nsambya gyeyaddusiddwa akawungeezi k'eggulo okufuna obujjanjabi. Ono yakubiddwa akakebe ka ttiyagaasi bweyabade ava okusisinkana munnamateeka wa NUP George Musisi e Bulindo mu munisipaali y'e Kira. Eby’okwerinda bibadde binywevu ku ddwaliro e Nsambye nga okutuukayo omala kuddamu kajjojijjoji w’ebibuuzo okutuusa lwabamusiibude.