Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye abasiraamu okwenyigira mu nteekateeka za gav’t
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye abasiraamu okwenyigira mu nteekateeka za gav’t okusobola okwekulaakulanya gamba nga Parish Development Model n’endala. Obubaka bwe busomeddwa omumyuka we Jessica Alupo amukiikiridde ku mikolo gya Uganda Muslim Supreme Council nga eweza emyaka 52 bukyanga etondebwawo. Eno eyaliko pulezidenti wa Uganda Idi Amin Dada n’owa Libya Col. Mwama Gadafi basiimidwa.