Tewali kubala bantu kiro: UBOS erabudde abantu okwerinda abanyazi
Ekitongole ekikola ku by’emiwendo era ekigenda okukulemberamu eby’okubala abantu ki Uganda Bureau of Statistics kikakasizza nga bwebatagenda kukonkona ku nyumba za bantu okubabala mu budde bw’ekiro olwaleero.
Tukitegedde nti abo bokka abagenda okubalibwa ekiro bebali mu ngendo, kko n’abanaasula mu bifo ebitali bya nkakkalira nga ebbaala, woteeri n’ebirara.
Kati baagala abantu beerinde abamenyi b’amateeka abayinza okubakonkona nga beefudde abazze okubabala mu budde obw’ekiro, kko n’okuteeka emisanvu egyekimpatiira mu makubo.