Waliwo omwana bazadde be gwebaasudde mu ddwaliro oluvannyuma lw’okubulwa ssente z’obujjanjabi
Waliwo omwana bazadde be gwebaasudde mu ddwaliro oluvannyuma lw’okubulwa ssente z’obujjanjabi. Shivan Amutuhaire nga mutuuze w’e Ntungamo, yali asoma kibiina kya 6 amasannyalaze negamukuba bweyali agenze okutyaba enku. Oluvanyuma lw’obujjanjabi abasawo mu ddwaliro lya Amazing Grace Medicals baabasabye obukadde 7, abazadde tebazzeemu kulabikako.