LOOLE Y’ANI? Waliwo eyakyusibwa mu bukyamu; poliisi eri mu kunoonyereza

Gladys Namyalo
1 Min Read

Waliwo omutuuze we Kaabuyanda mu district y’e Isingiro eyeekubidde enduulu ku NTV nga alumiriza poliisi okubowa loole gy’agamba nti yiye. Ono alumiriza nti waliwo abaagala okukozesa olukujjukujju okugimunyagako ng’ate nabo balumiriza nti yakozesa lukujjukujju nabo kugibabbako. Emmotoka eno guno mulundi gwakubiri nga poliisi egibowa nga olwasooka baagita ne nnyiniyo n’ateebwa ku musango gwe gumu.Poliisi eriko by’ezudde ebikwata ku kugingirira ebiwandiiko by’emmotoka eno by’egamba bye bataasooka kumanya nga bigenda kugiyambako okuzuula amazima.

TAGGED:
Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *