Ssaabalamuzi wa Alfonse Owiny-Dollo ajunguludde ebibadde byogerwa bannamateeka nti buli muntu waddembe okukkirizibwa okweyimirirwa, kasita aba ng’atuukiriza ebisaanyizo ebirambikiddwa mu mateeka.Dollo agamba nti bannamateeka bagwana batunuulire ensonga enkulu eziruma ekitongole ekiramuzi, naddala enkyukakyuka mu mateeka agafuga enzirukanya yakyo.Okwogera gwa Dollo kugidde mu kaseera nga abantu bangi balowooza nti ekitongole ekiramuzi kiringa ekirina entekateeka ey’okuwangaaliza abasibe ebekuusa ku by’obufuzi mu makomera nga babamma okweyimirirwa.