Ekitongole ky’amakomera kitandise okuzimba obusenge obw’ekikungu,nga muno mwebagenda okusibira nga abakungu ba gavumenti abazza e misango egyibatwaza mu makomera.Akulira ekitongole ky’amakomera Dr. Johnson Byabashaija agambye nti mu kaseera kano baakazimba obusenge 36 e Kitalya, nga kuno kwebagenda okwongera obulala mu kkomera lye Mbarara. Byabashaija agamba nti ekibakozesezza kino kwekuba ng’abamu ku bakungu bano bankizo nnyo eri eggwanga,songa abalala babeera bakamaabe.
Abasibe abakungu batandise okubazimbira obusenge obw’enjawulo

Leave a Comment