Abaddukanya ekitongole ky’ennyonyi ki Uganda Airlines balina enteekateka ez’okugula ennyonyi endala munana okwongera ku mukaaga ze balina.Kino basuubira kijja kubayamba okwongera ku nfuna yaabwe ssaako n’okugaziya engendo zebasaabaza abantu, wabula wadde nga enteekateka zino weeziri ate nsimbi ezigenda okuzigula zibeekubya mpi.Bano babadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo ka COSASE, ku by’alabikira mu alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024.