Abakulembeze b’ebuga eby’enjawulo bagamba ssinga gavumenti tevaayo n’ankola nambulukufu ku kuyonja ebibuga, kasasiro yandiviirako gavumenti okufiirwa ensimbi mu kuduukirira emitawaana gamba ng’endwadde eziva ku kasasiro. Okwogera bino abakulembeze okuva mu bibuga eby’enjawulo babadde mu lukungaanA okusala entoto ku nkwata ya kasasiro mu bibuga.