Abadde Avuganya Kukifo Ky’obwa Mayor wa Kyazanga Town council Maada Nanyanzi yekandazze n’afuluma ensisinkano ebadde eyitiddwa Commissioner wa Buganda avunanyizibwa ku byokulonda Mu NRM Ambassador George William Kinobe. Entabwe evudde Ku bakulu bano kwagala kulangirira gwe yavuganya naye mu Kamyufu Imran Matovu mu kalulu k’alowooza nti kaalimu emivuyo egyamusubya omukisa oguwangula. Kinajjukirwa nti akalulu k’obwa Mayor Mukyazanga Town council kabadde tekalangirirwanga okuva lwe bakalonda nga 14 omwezi guno olw’emivuyo egyakwetobekamu nekiviirako nè poliisi okukuba omukka ogubalagala mu balonzi.