Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti ka COSASE, kalagidde Hamis Kiguddu oba Ham okulabikako gyekali ku Lw’okubiri lwa sabiiti eggya annyonnyole gyeyajja obuyinza okutandika okuzimba ku mwala gwe Nakivubo nga tafunye lukusa okuva mu KCCA. Okutumya Ham kiddiridde abakulu mu KCCA okutegeeza akakiiko nti tebamukkirizangako kuzimba ku mwala guno, era baliko n’ebbaluwa gyebamuwandiikidde okumuyimiriza. Abakulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ki NEMA nabo beesammudde ebyokuwa Kiggundu ono olukusa okuzimba ku mwala guno.