Abalondoola eby’obufuzi bakubye ttooci mu butakkaanya obuliwo wakati wa sipiiika Anita Among ne Rebecca Alitwala Kadaga nga bagamba nti ababiri bano ssinga tebekkenneenya mbala ya byabufuzi byabwe ebinaava mu kino byaakubakosa bbo ng’abantu.Embiranye eva ku kifo ky’omumyuka ow’okubiri owa Ssentebe wa NRM mu ggwanga.