Lwaki bakuyisa ng’ekyokuttale? Kyagulanyi asabye Kadaga yeegatte ku NUP

Gladys Namyalo
1 Min Read

Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi awadde eyaliko sipiika Rebecca Kadaga amagezi ajje yeegatte ku kibiina kyabwe, mu NRM bwe baba batandise okumuyisa ng’eky’okuttale.Kyagulanyi okwogera bino kiddiridde olutalo ku kifo kya CEC mu NRM, Kadaga ky’alwanira ne sipiika Anita Among nga ku nkomerero ya wiiki,batuuse n’okweerangira ebigambo ebisongovu mu maaso g’omukulembeze w’eggwanga.Kyagulanyi agamba nti bbo balina bingi bye bamutegekedde kabya asalawo okubeegattako bakole. Ono abadde aggulawo ekitebe ky’ekibiina ekijja mu Buvanjuba.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *