Bannamateeka,kko n’abagoberera enkwasisa yaago bawabula nti ssaabawolereza wa gavumenti kko ne Palamenti kano kekadde badibye eteeka erikugira abantu okukola duyiro atwalibwa nga ow’ekinamaggye nga bagamba nti lino eteeka lyali lya bafuzi b’amatwale.Bano bagamba nti mu kaseera kano gavumenti yandiba nga elyeyambisa kujonyesa bantu nga yesigama ku nsonga za byabufuzi , sosi kukwasisa mateeka nga bwekiraga.Bbo abavuganya gavumenti bawera nti bakuddukira mu kooti etaputa ssemateeka , bawakanya eteeka lino.