Abantu abasoba mu 800 abalina ebibanja mu bitundu eby’enjawulo mu Disitulikiti y’e Luweero ababadde batiisibwatiisibwa okugobebebwa mu bifo byabwe bafunye ku buweerero obw’ekiseera oluvanyuma lwa Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja okuyisa ekiragiro ekiyimiriza okubagoba. Minisita Mayanja alagidde olukiiko lwa district y’e Luwero olw’ebyokwerinda ne Poliisi okukuuma abantu bano n’okulaba nga tebagobebwa, ono era alagidde ababadde batuntuza abebibanja okukwatibwa ekitanudde abantu n’ebanyenya ku galiba enjole.