Abalunzi basabiddwa okwettanira ente ez’olulyo
Ebbula ly’ettaka ly’okulundirako ebisolo kyekimu ku bisoomooza abalunzi b’ete mu disitulikiti y’e Ntoroko olw’amataba agazze gatawaanya ekitundu kinno. Kati abalunzi bakubiriidwa okwettanira okulunda ente enongooseemu ezivaamu amata amangi ate na zisobola okulundirwa ku ttaka etono.