Abantu 19 bafu, 13 balumiziddwa mu kabenje e Hoima
Abantu abakunukkiriza mu 20 bebafiiridde mu kabenje ddekabusa mu kiro ekikeeseza olwaleero ku kyaalo Wanseko mu tawuni kanso ye Kigorobya ku luguudo oluva e Hoima okudda e Buliisa FUSO kwebaabadde batambulira bweyalemereddwa okulinya akasozi neegwa neyefuula.Bano babadde bava mu katale k’omubuulo ku ssaawa nga mukaaga ogwekiro ekikesezza olwaleero.