“MUFEEYO KU BYE MULYA”: Abakugu balabudde bannayuganda
Abakugu mu byendya balabudde bannayuganda okufaayo ku bye balya,bye bagamba nti bituuse okubaleetera endwadde ezitasiigibwa. Bano bagamba nti kigwaniddidde abantu okutandika okulya emmere ennansi , kko n’okulya emmere erimu buli kirungo ekyetagisa mu mubiri gamba nga ebibala n’ebivaava nga ekitali kino batuuse okukifuuwa nga bakizza mu nda. Bazze balabula nti okulya amasavu agayitiridde kko ne sukaali atali mulongoseemu y’ensibuko y’akabaate.