Akakiiko k’ekibiina ki NUP akakola ku by’okulonda koolekedde Masaka
Olweggulo lwaleero abakungu abatuula ku kakiiko k’ekibiina ki NUP akakola ku by’okulonda basitudde okugenda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okutandika okusunsula abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendera ku mutendera gwa gavumenti ez’ebitundu.Akulira akakiiko kano Harriet Chemutai atugambye nti beekozeemu ebiwayi bina, abamu bagenze mu kitundu ekya Buganda, abalala bukiika kkono , ebuva njuba kko n’ebuggwanjuba nga guno omulimu baakugukola wakati wa nga musanvu okutuuka nga 13th omwezi guno.