E Nakasongola omusujja gw’ensiri gweyongedde, abantu tebakozesa butimba
Kizuuliddwa nti abantu mu district y'e Luweero ne Nakasongola obutimba obubaweebwa okwetangira ensiri okubaluma ate bbo babubikissa biswa okweriira ku nnaka, ekintu ekisinze okuviirako omusujja gw'ensiri okweyongera mu bitundu byeyo.Ebibalo bya minsitry y'ebyolamu biraga nti e Nakasongola ku buli bantu 100 abagenda mu ddwaliroo 40 babeeramu omusujja gw'ensiri.Atekeeratekera minsitry y'ebulamu Dr. Dian Atwine eno yavuddeyo musunguwavu nga agamba nti abatuuze bano balinga abatabala muwendo mu bulamu bwabwe.