EMPAKA Z’OKUBAKA:Aba ttiimu ya Busia Greater Lions baliko bye basabye
Abakulembezze ba ttiimu ya Busia Greater Lions ey'omuzannyo gw'okubaka bekubidde omulanga eri aba netball Uganda ekibiina ekikulembera omuzannyo gw'okkubaka mu ggwanga babakirize nabo babeeko emizannyo gya liigi y'eggwanga gyebategekera e busia kibayambeko okukendeeza ki mirundi gyebatambula okujja e Kampala wamu n'okukendeeza ku bisale byebakozesa.Mukisera kino Busia Greater Lions ye tiimu esinga okuva ewala okujja okwetaba mu liigi y'eggwanga ey'omuzannyo gw'okubaka.