EMPAKA ZA CHAN:Uganda esuze bulindaala okwambalagane ne algeria
Uganda Cranes yakuttunka ne Algeria olunaku olwenkya mu mupiira gwa ttiimu zombi ogusooka mu mpaka za Africa Nations Championship - Chan ku Mandela National Stadium e Namboole. Empaka zino zaguddwawo mu butongole olunaku olw’eggulo nga Tanzania ettunka nè Burkina Faso gye yakugye ggoolo 2-0 ate akawungeezi ka leero Kenya ezannye DR Congo. Uganda efunye okutendekebwa kwayo okusembayo olwaleero.