OKULUMIZIBWA MU NSONGA:Abakyala abayita mu mbeera eno balojja obujiji bwe bayitamu
Mu kitundu kyaffe ekyasoose olunaku olw’eggulo , twalabye omukyala Stella Nakato ne Grace Nagawa, nga bonna bayita mu bulumi obutagambika nga bagenze mu nsonga z’ekikyala- kyoka obulumi bwe bayitamu bwasooka ne butwalibwa nga obwa bulijjo okumala ebbanga.Kati leero katulabe engeri gye baatandika okujjanjabwa, eky’ennaku omu yagenda okujja ng’obudde bwayitakodda- wekyakimanyira nti ayambalaganye n’ekikwa ky’obugumba, kko n’okukozesa ensimbi enyingi okwejjanjaba.