“LWAKI MUWANIKA EMISOLO”: Abasuubuzi mu katale k’e Mbale bakedde kuva mu mbeera
Emirimu gisannyaladde mu katale ka Mbale Central Market abasuubuzi abakakoleramu bwe beekalakaasizza nga bawakanya eky'abakulu mu kibuga kino okubongeza emisolo gye bagamba nti gibanyigiriza. Abasuubuzi era beemulugunya ne ku batembeeyi abakolera ku nguudo ezeetoolodde akatale be bagamba nti babalemesa okufuna abaguzi ate nga bbo tebalina misolo gye basasula.