“MUBEEMU AK’OBUNTU”: Omulangira Nakibinge asabye NEMA ku ky’abasengulwa mu ntobazzi
Obubaka bw'okusaala Iddi- Adhua ku muzikiti e Kibuli bwetoololedde ku kusaba gavumenti ebeeko ky'ekola ku ngeri abantu abagambibwa okusenga mu ntobazi gyebasengulwamu. Eno Jjaja w'obuyisiramu mu Ggwanga, Omulangira Kassim Nakibinge gyasinzidde n'asaba ekitongole ekivunanyizibwa ku ky'obutonde bwensi ki NEMA okukozesa obwenkanya nga kigobaganya abantu abali ntobazi.