E KAYUNGA EBISULO BY'ABAYIZI BIGADDWA : Bisangiddwa tebituukana na mutindo
Ebisulo by’amasomero agamu bigaddwa e Kayunga oluvanyuma lw’okusangibwa nga tebituukana na mutindo ogwateerebwawo minisitule y’eby’enjigiriza. Olwaleero akulira okulambula amasomero mu Kayunga nga ali wamu n’amyuka RDC mu disitulikiti basiibye balambula masomero ag’enjawulo okulaba abayizi engeri gyebasulamu. Ggo amasomero agamu galabuddwa ku bisulo byago wadde nga byo tebigaddwa.