Gavumenti eyisizza ebiragiro eri abawozi b’ensimbi
Gavumenti eragidde abawola ssente bonna abakyalina endagamuntu z'abantu bebawola okuzibaddizza bunnambiro oba sikyo bakukwatibwa. Kino kidiridde okuba nti abawoola ssente bangi bazze basaba bannauganda endagamuntu okusobola okubawola ssente, gavumenti kyegamba nti kimenya matteeka. Ye akulira kyabawozi b'ensimbi eziggwa mu kkowe lino oba ba Money lender Ben Kavuya agamba nti gavumenti yandisitukiddemu newandisa abawoola sente kuba bangi kubo tebamanyiddwa.