UNEB erabudde ba nannyini masomero, abazadde n'abayizi ku kwenyigira mu kubba ebigezo
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board [UNEB], kirabudde abakulira amasomero, abazadde n’abayizi okwewala abantu abayinza okubawudiisa okubabbira ebigezo.
Enteekateeka zonna ez’ebigezo bya PLE ziwedde nga balinze naku kutuuka abayizi kwebagenda okutuulira ebigezo byabwe wiiki eno.
N’abayizi ba siniya ey’omukaaga nabo olwokutaano lwa sibiiti eno lwebagenda okulambikibwa kwebyo byebalina okugoberera nga bakola ebigenzo byabwe ebigenda okutandika wiiki ejja.