Poliisi erabudde abantu okuba obulindaala mu biseera bino eby’enkuba
Poliisi evuddeyo n’erabula abantu okuba obulindaala, mubiseera bino eby’enkuba, eviiriddeko n’amataba okusalako amakubo agamu.
Nga ogyeko abavuzi b’ebidduka abasabiddwa okuba ab’egendereza nga bavuga ebidduka byabwe mu nkuba - n’abantu b’abulijo nabo balabuddwa okwekuumira mu nyumba zaabwe nga enkuba etonya.
Bategeezeza nga laddu bwezisusse ensangi zino nga abantu bangi baluguzeemu obulamu.