Ggoobi: Ekyokukomyawo ebbago ku ngabanya y’ensimbi tekirina kweraliikiriza bantu
Ateekerateekera minisitule ya byensimbi era nga ye muwandiisi w’ekitavvu ky'eggwanga, Ramathan Ggoobi agamba nti eky'omukulembeze weggwanga okukomyawo ebbago ly'etteeka ku ngabanya y'ensimbi mu mwaka 2024/2024 liddemu okwetegerezebwa Palamenti tekisaanye kweraliikiriza bannayuganda. Ebbago lino, aba minisitule yebyensimbi kwe basinziira okufulumya ensimbi eri ebitongole bya gavumenti mu mwaka gwe'ebyensimbi. Ggoobi agamba waliwo amateeka amalala agayinza okweyambisibwa okufulumya ensimbi okusobola okutuusa empeereza ku bannayuganda.