Waliwo aba Tanzania abakonkomalidde ku poliisi ye Masaka
Poliisi e Masaka etubidde nebbanansi ba Tanzania nga bafamire emu bana omuli Taata , Maama n'abaana babiri abato. Bano bagamba nti badduse mu ggwanga lino nebasalawo amakanda bagasimbe ku Poliisi naye nga esonga eyabaviiriddeko okudduka e Tanzania tenaba kutegeerekeka bulungi.