Ebyava mu kubala bantu bilaze nti Uganda esingamu abaana abali wansi w’emyaka 18
Ebyava mu kubala abantu okwaliwo mu gwokutaano omwaka guno ebyafulumiziddwa olunaku olweggulo, byalaze nti Uganda esingamu baana bato n'abavubuka nga abaana abatanaweza myaka 18 bakola ebitundu ebisoba mu ataano ku kikumi so nga abavubuka abali wakati w’emyaka 18 ne 30 basuka mu bitundu 22 ku kikumi. Abakugu mu by'enfuna ne mu nsonga z'abaana batubulidde nti ssinga bano gavumenti tebateekerateekera bulungi,bajja kufuuka ekyeneena ekintu ekyobulabe eri eggwanga.