Ensala ya kkooti ensukkulumu: eyawaaba omusango mu kkooti aliko byatangaaza
Omusango Kkooti ensukkulumu gw’ewaddeko ensala gwaloopebwa Eyaliko Omubaka wa Nakawa Michael Kabaziguruka eyali awozesebwa kkooti y’amagye ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu mwaka gwa 2016. Ono kumpi ekisanja kye kyonna yakimalako arwanyisa misango gino era nga obuwanguzi yabufuna mu 2021 kkooti etaputa ssemateeka lwe yawa ensala yaayo ngegamba nti kimenya ssemateeka okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.