KKOOTI Y’AMAGYE : Kkooti ensukkulumu egigobye ku kuwozesa abantu babulijjo
Kkkoti Ensukkulumu eyimirizza eby'okuwozesaa abantu ba bulijjo mu kkooti yamagye era n'eragira mbagirawo buli muntu wa bulijjo yenna gwewozesa emuweeyo mangu eri kkooti za bulijjo. Awatali kwesalamu, abalamuzi ba Kkooti eno nga bakuliddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bateegeezezza nti kkooti y'amagye obuyinza ebulina ku bannamagye bokka.