Ebyava mu bigezo amasomero ga PLE- e Luwero gaakola bulungi
Abakulu bamasomero agakoze obubi mu district y’e Luwero baakuyitibwa babitebye lwaki balina abayizi baabwe baangi ababigudde. Mu district eno abayizi 1,085 sibakuyingira siniya mu somero lyonna kubanga eby’eky’omusanvu babigudde n’enkoona n’enywa. Kati sentebe wa District eno. Erasto Kibirango agamba nti abakulu b’amasomero omuli abayizi abaagudde balina okubitebya. Herbert Kamoga ebikirako awo y’abirina.