‘Mwekuume Obutawasa’ Ssaabasumba akalaatidde abasasserddooti
Ekelezia katulika ekuutidde abasassereddooti baayo okunyweza ekiragaano kye baakuba eky'obutawasa na ddala mu biro bino ng'ensi eyongedde okugwenyuka.Bino bibagambiddwa ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Sssemogerere mu missa y'okutukuza omuzigo ku lutikko e Lubaga.Okusinziira ku Ssaabasumba Ssemogerere abaddu ba Katonda bano basaanye okuba eky'okulabirako ensi eno bw'eba nga yakuddamu ku nsa.