Obwavu Mu Bannaddiini Abawummuze:Kkanisa ebateereddewo ensawo okudduukirirwa
Ekkanisa ya uganda etonzeewo ensawo eyenjawulo okuduukirira abaweereeza abawummuze, abesanga nga bali mu mbeera eyetaaga okubeerwa.Kizuuse nga ekkanisa mu kaseera kano erina abaweereza abawummuze abasoba mu kakadde , ekyennaku bangi ku bano bawangaalira mu mbeera esomooza.Kati ekkanisa mu ntekateeka eno etunuulidde okuzimba amayumba g’abapangisa, okulima kko nokulunda ensimbi ezinaavangamu ziyambe abaali abaweereza abali mu bwetaavu.