Ogw’okukabasanya atanneetuuka:Eyaliko omusomesa e Kyambogo asindikiddwa ku alimanda
Dr. Eron Lawrence eyali omusomesa ku Yunivaasite ye Kyambogo asindikiddwa ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw’okusomerwa emisango egyekuusa ku kukabasanya omwana omuzibe atanetuuka, natuuka n;okumumetta akawuka akaleeta mukenenya. Dr. Eron leero lwalabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa. Oludda oluwaabi lugamba nti Emisango gino Eron yagizza nga 12 omwezi gwa October Omwaka oguwedde wakati wa Yunivaasite ye Kyambogo n’ekyalo Nsawo ekisangibwa e Namugongo. Okuva olwo Eron abadde aliira ku nsiko ekyawaliriza Poliisi okussaawo obukadde kkumi eri yenna ayinza okugiwa amawulire ku mayitire ge. Wabula ono akawungeezi kajjo yeewaddeyo mu mikono gya poliisi ekola ku kunoonyereza e Kibuli. Eron kkooti temukkirizza kwewozaako kubanga emisango gye gya nnaggomola nga girina kuwozesebwa kkooti enkulu . Oluvannyuma ono asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 17 omwezi guno ng’oludda oluwaabi bwe lukungaanya obujulizi obumuluma . Ye muzadde w’omwana agambibwa okukabasanyizibwa musanyufu nti Eron ali mu mikono gyabebyokwerina .