Omubaka Shamim Malende agamba waakuwenjeza NUP obuwagizi mu Kampala
Oluvanyuma lw'okudda mu ggwanga olunaku lwe'ggulo, omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende agamba nti obukosefu wakubuteeka ku bbali , obwanga abwolekeze okuwenjeza ekibiinakye obuwagizi naddala mu kampala mwakiikirira.Malende alaze enyiike olwefujjo elyakoleddwa banna kibiina ki NRM mu kamyufu k’ekibiina kyabwe akaakaggwa, kyoka nagamba nti kino kigenda kubawa enkizo bbo nga banna NUP okwongera okwenywereza mu bukulembeze bwa Kampala.