Ab'e Kiteezi bakubye KCCA ne NEMA mu mbuga z'amateeka lwa kulwawo kutuukiriza bisuubizo byabwe
Abatuuze b'e Kiteezi, abawangaalira okumpi n'ekifo awaali wayiibwa kasasiro beekubidde enduulu mu kkooti olwa KCCA ne NEMA okulwawo okussa mu nkola bye baasuubiza okukola oluvannyuma lw'enjega eyafiiramu abantu abasoba mu 30 omwaka oguwedde. Abatuuze nga bali wamu n'ekitongole ekirwanirira eby'obulamu ki Center for Health Human Rights and Development baagala kkooti eyimirize okuyiwa kasasiro mu kifo kino, era ekake ebitongole bi KCCA ne NEMA okuzzaawo ekifo kino mu ngeri etuukana n'obutonde bw'ensi kko n'okukiteeka ku mulembe nga balongoosezaawo kasasiro aliwo kati