Abaali balenga akaboozi e Luweero kati beenenya, abasinga bafuuka basuubuzi
Waliwo abakyala abaali bakola ogw'okulenga akaboozi abagamba nti obulamu bwabwe bukyuuse bukyanga balekayo omulimu guno oluvanyuma lw’okufuna obuyambi okuva mu government okuyita mu kitongole ki Micro-finance Support Centre. Abakyala bano baangi kati balina saloon, abalala woteeri, n’abandi batunda bya kunywa nga bagamba nti obulamu bwabwe bugenze bukyuuka era kati bakwata ku nsimbi ezisinga ku zebaali bafuna nga betunda. Omusassi waffe aliko bayogeddkeo n’abo nebamutotolera obugubi bwebayitamu nga okukola obw’amalaaya.