Abaasengulwa ku ttaka, waliwo abalala abagumbye ku woofiisi ya RDC w’e Kasese
Abaasengulwa ku ttaka lyabwe gavumenti bweyali egaziya ekuumiro ly'ebisoro li Queen Elizabeth e Kasese mu mwaka gwa 1952 baagala bwenkanya oluvanyuma lwa gavumenti okubasuubiza okubafunira ettaka ewalala kati emyaka egisoba mu 70 nga tewali kyali kikoleddwa.Kati bano nabo beggase ku banabwe abaasooka okuguumba ku wofisi ya RDC e Kasese ku nsonga ze ttaka okwekubira enduulu eri gavumenti.Wabula olw'omuwendo gwa abantu abasusse obungi mu kifo kino RDC we kitundu kino Joe Walusimbi abalabudde okukyamuka olwa abantu abettima abayinza okubakolako obulumbaganyi.