Ebijambiya by’e Masaka, Ssenyonyi alambudde ku baakosebwa e Masaka
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi alambudde ku zimu ku famile z'abantu abattibwa mu mwaka ogwa 2021 mu bijambiya ebyakyaka ennyo e Masaka ebyaleka abantu abali eyo mu 30 nga battiddwa.Ssenyonyi yagenze ku kyalo Senya mu division ya Kimaanya -Kabonera e Masaka okulaba embeera abantu bano gyebalimu saako n'okubagumya nga bwagenda okukola obutaweera okulaba nga bafuna obwenkanya ku kufa kw'abantu babwe.