Abakugu batangaazizza ku kivaako obuzibe mu bazadde, abaana n'abazzukulu
Abakugu mu kunoonyereza ku ndagabutonde oba kiyite DNA bagamba nti abooluganda, oba abantu abayina omusayi gwe gumu bwe bawasangana kyongera emikisa gy'okuzaala abaana abalina obuzibe, oba obukosefu bwe bumu. Bino babitubuulidde mu kunoonyereza kwe tubaddeko nga tubuuza ekyaviirako famile y’e Soroti ey'abantu 14 okuba nga bonna baazaalibwa bazibe okuviira ddala ku Jjajja musajja. Bannassaayansi batunnyonnyodde ebimu kw’ebyo ebisobola okuleeta nnabe ono.