Abakyala abatunda emikyomo e Lukaya, waliwo abalina kye bagifunyeemu
Mu kaseera kano nga okunoonya ensimbi tekukyaliko myaka , wadde, ekikula, abakyala bangi bafungizza okwerwanako okulaba nga bakyusa eby’enfuna byabwe, kko n’okulabirira amaka gaabwe.Mu buufu buno , leero tugenda kulaba abakyala abali mu Katale ke Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu, abatunda e nkoko, emicomo, gonja, n’ebyokulya ebirara eri abatambuze. Bangi ku bano basobodde okukyusa obulamu bwabwe - era tebajula