Abantu abaggyibwa e Bududa embeera gye balimu tesanyudde babaka
Abantu gavumenti beyasengula mu 2010 okubajja mu disitulikiti ye Buduuda okubatwala e Kiryandongo bagamba nti gavumenti erabika nga yabeerabira, n’enyumba ze yabasuubiza okubazimbira tebazirabanga. Kinajjukirwa nti bano okubatwalayo yali e bawonya kubumbulukuka kwa ttaka e lyatta abantu abasukka mu 100 omwaka ogwo , kyokka nebasuubiza nga bwejja okubawa ennyumba eziwedde okuzimba kko ne byapa. Okukaaba kwabwe bakuyisiza mu babaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga zobwa Pulezidenti ababde bakyalidde ku batuuze bano.